Amassiga gali 32

Amassiga agali mu kika ky’engabi

Ab’engabi wetwogerera tulina amasiga amakumi asatu mwabiri (32), oluvannyuma lwokweyawula kwa Kannyana ne Mutaawe.

Amasiga gano gona tegaaliwo mu 1927 wabula agamu gaze gava mu gaaliwo ng’okwegatta kubawo, okugeza erya Ssabalangira Muyomba lyatandikibwawo mu 1937 nga liva musiga lya Muwonge e Jjalamba era mu Muyomba mwemuva Nsamba. Essiga lya Ngobya lyava mu lya Lutazzibwawo era neritongozebwa Nsamba Kamoga mu mwaka gwa 2012. Naye nga agasingako obungi baali baana ba Nsamba lukonge.

Essiga, Obutaka n’Essaza

  ESSIGA AMANNYA G’OWESSIGA OBUTAKA BWE
1 Bikwaya   Nakigalala-Busiro
2 Bukenya J.C. Lubega Salongo Musalaŋŋoma –Gomba
3 Busajjabukirana Eriazali Matovu Busooba-Buddu
4 Gasubwa David Yiga Magando-Buddu
5 Jaawo Robert Matovu Mooya-Mubende
6 Kalanda Daniel Lubega Ddimu-Buddu
7 Kalwanyi Bivanju Lambu-Buddu
8 Kasaanya Yozefu Mambule Nkalwe-Buddu
9 Kasiita Patric Muliika Kabira-Buddu
10 Kasumba Mpungu C. Muwonge Kizza Bujjaju-Buddu
11 Katomera Peter Lubadde Salongo Bulugu-Butambala
12 Kirama   Gombe-Kooki
13 Kitwe Dr. Muhmood Muwonge Bweya-Butambala
14 Lubyayi Magandaazi A. Salongo Butale-Buddu
15 Lugwa P. Matovu Kibulala-Singo
16 Lutazzibwawo Solomon E. Lubega Nakyenyi-Buddu
17 Lwogerera Timothy Kiwanuka Bukooyero-Buddu
18 Mateega Joachim Bitongole Bukenya ŋŋomannene-Gomba
19 Mulamago Salongo Nicholas M. Kyesimba -Buddu
20 Mulindwa J. C. Matovu Buyaga-Buddu
21 Mutunzi D. M. Lubega Bwamijja- Buddu
22 Muwonge Daniel Kamoga Jjalamba-Mawokota
23 Muyomba Robert Muyomba Kijjudde-Mawokota
24 Nfuufu David Lubega Kasozi Babega Butambala
25 Ngobya Damian Salongo Kizza Mulema-Buddu
26 Nkoleera M. S. Matovu Kasijjagirwa-Buddu
27 Nnakakakkulu Samuel Matovu Kabuye-Buddu
28 Ntayigi Moses Jjengo Kaggwa Kasambya-Buluuli
29 Ssemaganda E.C.K. Mulyanga Mulole- Ssese
30 Ssendikaddiwa Sserukwaya Ssaka-Butambala
31 Yiga Ahamad Kitatta Lubega Migamba-Mawokota
32 Kakadde   Mpuku – Kyaggwe
       

Essiga lya Muwonge ejjalamba mu mawokota

Omutuba Obutaka
Mbirisa Jjalamba Mawokota
Mukumbya Nnende Buddu
Bagoolo Kanyike Ssemuto-Bulemeezi
Mbiddekawa Kitotolo-Ssingo
Bwenalya Nakwaya-Ssingo
Nkanyanvu Mawagga-Ssingo
Tubuke Kibiri-Kyadondo
Kyamufumba Wamirogo-Kyadondo
Kasando munobwa Bbale-Bugerere
Nampala Kitotolo-Ssingo
Kijjanamuggundu Bbira-Bugerere
Baganja Mbanda-Butambala
Zakulwanya Nampayi-Kyaggwe
Serumba Kakunyu-Busiro
Budula Bumaali-Mawokota
Makaabugo Bayita ababiri-Busiro
Mayumba Nakaseke-Bulemezi
Galusanja Nansana-Kyadondo
Kasindula Nsasi Luwero-Bulemeezi
Zaalyembikke Kiwala-Butambala

Essiga lya Yiga emigamba mu Mawokota

Omutuba Obutaka
Musajja Ayota Kitemu Busiro
Balibaseka Bukoma Mawokota
Mukusu Ndilaweeru mawokota
Matovu Bongole Mawokota
Ssagala Kiwannyizzi Buddu
Kasirivu Nsagwa Mawokota
Kikunta Nkokonjeru Ssingo
Ssekatta Mpambire Mawokota
Kikankanyika Mwese Gomba
Kakyukyu Wannume Buddu
Mabuzi Kankeesa Butambala
Waalwa Kiwaala Butambala
Mulindwa Ssekulo Gomba
Kakwanzi Bukere Busiro
Ngabo tekyala Busiro
Ssekirevu Buddo busiro
Ssekindigita  
Nakyewa Buziga Buddu
Mujwiga Bajja Lukaya Buddu
Magezi Bussuju
Mbidde Ekaawa Kittanswa Ssingo
Kitabadde Kyagwe
Kijooma Matte Ssingo

Ssabalangila Muyomba Obutaka /Embuga Kijjudde Mawokota

Emituba egikulemberwa Ssabalangira ( Kinajjukirwa nti obutafanana bamasiga amalala, abeemituba abakulemberwa Muyomba ssibaanabe bano baana baba Nsamba ababuze anti buli Nsamba afa akola omutuba. Wabula Nsamba, Ssabalangira Muyomba yamuteekawo amulamulireko abalangira abava mu mituba gya bansamba abo. Naye mu masiga amalala ab’emituba baba baana bamasga ago). Ekyenjawolo emituba egikulemberwa Ssabalangira gyonna tegyaava mubansamba buterevu. Mulimu egyo egyasimbibwa bansamba abenjawulo newankubadde olumu beteekako amannya ga baNsamba.

Emituba gyegino:

  • Ogwa Nsamba Yozefu Kamoga I
  • Ogwa Antonio Kasozi e Buwaali Buwand
  • Ogwa Yirera Lubega Mukaaku e Buyuki Buseebw
  • Ogwa Yozefu Magandaazi e Buyondo Bussebw
  • Ogwa Masengere e Ggongoliro Buwand
  • Ogwa Seguya e Kyanj
  • Ogwa Kamoga I Muttamu Sing
  • Ogwa Mbazzi e Kasos
  • Ogwa Muttanzige E Bubuul
  • Ogwa Waggwekku e Ggongoliro Butambal
  • Ogwa Owobusung
  • Ogwa Nseko Kalagal
  • Ogwa Katalo
  • Ogwa Nnamunnungu Kiswera Singo

Essiga lya Kalwanyi Embuga eriI Ddimu kumpi ne Bukakkata bu Buddu

EMITUBA                                                                   EMBUGA/OBUTAKA

  • Jjulu                                                                         Kaloddo  Buddu
  • Mugenyi                                                                Bbale     Buddu
  • Musaazi                                                                 Kyanjovu Buddu
  • Lusoobba                                                             Meeru
  • Ddumba                                                               Lugera
  • Kacumu                                                               Kacumu   Buddu

Omutaka Nsamba Aloysious Lubega Magandaazi II