Ngabi Clan

Ensolo gyebayita engabi

Engabi nsolo ya mu ttale nga bweba ekuze bulungi yenkana ennyana. Erina amayembe nga ssi manene nnyo era nga ssimawavu nnyo nga kumutwe geesimbye bwesimbi. Engabi oluusi eba n’oluyina mubulago nga lweru. Engabi ewomerwa nnyo obuti obuyitibwa ejjerengesa obusangibwa ku mbubuto z’ebisaka n’ebibira oba. Engabi emanyiddwa nnyo nti tesavuwala era kuno ndowooza kwekwava nenjogere ya ‘kyebonere ng’amasavu geNgabi’ olwobutalabilabika. Abayizzi baginyumyako ngensolo eteri nyangu mu kuyigga.Kunsonga eno kwekwava nokugereesa nti ekitimba ekikadde tekukwata Ngabi, anti bw’ekigwamu ekiyuza nekiyitamu neyeyottera.

Engabi etandikwa etya okuyitibwa engabi

Kino kyogerwako mugeri zanjawulo ng’esooka kigambibwa nti abayizzi baayigga akasolo ne bakeegabanya bulungi awataali buzibu bwonna.  Bwebamaliriza okugabana abamu kwekutandika okugamba nti akasolo kano ketwasse kagabika, anti buli omu yafuna. Bayongera okuyigga  nokutta banne bakasolo kali akagabika. Olwokuddiŋananga olunye ebigambo kagabika  awo erinya ngabi we lyatandikira nga lisalibwako munjogera eya KAGABI n’olvannyuma neyitibwa eNgabi.

Engabi efuuka etya omuziro

  1. Kiwanuuzibwa nti waliwo jjajja ffe omuberyeberye eyayigga obusolo mu ttale nga nobugabi tebubuzeemu. Olumu bwe yalya ennyama y’engabi yayisibwa bubi nnyo era mbu naalwala nnyo n’okuyubuka n’ayubuka yenna omubiri. Olwa kino ekya mutuukako kye yava alagira abantube n’abolugandalwe obutaddiranga kulya nyama ya Ngabi. Okuva kwolwo abaana ne bazzukulu be tebaddayo kukomba ku nnyama ya Ngabi okuva olwo engabi nefuuka muziro gye bali na buli kati.
  2. Abandi bakinyumya nti edda kumulembe gwa Ssekabaka Muwawa ajjajja ffe yagenda okuyigga ngali nebasajjabe nebakoowa nnyo ne basalawo okubaako we bawumulirako okumpi n’akasaka. Bwe baali bakyawumuddeko ensolo n’efubutuka mu busaka obwali bulinanye okumpi ne we baali bawummulidde ne dduka ng’ebolekedde. Bafuna okwekanga kungi nnyo olw’omusinde gweyakuba anti ekyekango bakigamba nti tekimanya muzira. Mukwekanga kuno nga buli omu adduka kutaase bulamu enkutu/eddiba lya Jjajja waffe welyaseeseetukira n’okugwa nerimugwako obwererebwe nebulabika era nasonyiwala nnyo eri basajjabe beyali nabo. Ensolo eno ng’emaze okubulilayo Jjajja ffe kwekubuuza bassajja be nti eyo yye bannange ebadde nsolo ki? Bamutegeeza nti yali Ngabi era kino kyamukola bubi nnyo anti engabi yali emuswazizza nnyo eri basajjabe olw’okulaga obwererebwe gyebali. Yavumirira ekisolo ekyo nagattako okukiyita ekyekivve nnyo, eky’ekisiraani era kibi nnyo. Okuva kwolwo yalagira abaana, n’azzukulu ne basajjabe obutaddagayo kuyigga oba okulya eNgabi obulamu bwaabwe bwonna. Okuva ku muyigo ogwo e Ngabi n’efuuka omuziro gwaffe nabulikati.

AKABBIRO kab’eNgabi   lye JJERENGESA

Ejjerengesa butiiti nga busangibwa ku mabbali gebibira, embirabira oba ku bisaka. Engabi ebuwoomerwa nnyo nga bwotedde (Laba ekifaananyi).

 

OMUBALA

Omubala lwe luyimba oluyimbibwa naye nga lugenda n’eŊŋoma ekubibwa n’eminyolo. Buli kika mubuganda kilina omubala gwakyo. Omuntu awulila buwulizi mubala guba gukubibwa notegeera ekika kyagwo. Ng’ojjeko mukufiirwa omubala gukubirwa ku mikolo gyonna egisigaddewo, munnyimbe, kumbaga, mukwangula mukwesanyusaamu okwengeri ezitali zimu.Buli musajja mukika kimukakatako okumanya okuba omubala gwekika mwava ate ssikibi nokimanya okukuba ogwobukojjabwo.

Abakazi bo tebakuba mibala.

Omubala nga gukubibwa eŋŋoma tetuuzibwa wansi wabula:

i). Agukuba awanirila eŋŋoma ngakozesa olwambalizo lwayabaza munsingo ye olwonakuba

ii). Omuntu omulala ayinza okugiwanilila

iii). Bwe wabawo omuti okumpi olwambalizo lwe ŋŋoma lwokozesa okugiwanilila ng’oli akuba.

Ate ggwe alina ekifundikwa kikuswaaza nnyo bw’oba tomanyi kukuba mubala gwa kika kyo. Weefubeko kati oguyige.

Omubala  gwaffe abasambaganyi ogusinga okukozesebwa guvuga nti:

“KKALIKUTA  KALIKUTANDA NEKAKUTWALA MUB’ENGABI ABASAMBAGANYI”

Omubala omulala guvuga nti “KAKKU KAKKUTADDE; TADDE KAKKU” guno gwa Nsamba yekka

Ennaku zino waliwo abakuba emibala ngabataddemu ebisoko mungeri zaabwe olw’okunyumisa naye ekiwandikiddwa wagguu omubala gwaffe mubusimbalala bweguvuga.

Omukubi w’omubala omuungi nebwatayogera kilala kyonna okujjako okwamira, eŊŋoma yennyini omukubi asobola okugyatuza ebigambo ebiri mumubala era abawuliliza nebamannya mubala gwakika kki oguba gukubibwa essawa eyo.

Omuziro Ngabi
image003
Akabbiro Jjerengesa