ESSIGA LYA MUTUNZI
EBYAFAAYO
Essiga lino likolebwa olulyo OLULANZI,era abazzuku abava mu Ssiga lino bayitibwa ABALANZI,nga kiva mu Bulangira obusibuka e kibulala ewa winyi Ccwa.Abalangira bonna abasibuka e kibulala ,beddiranga omuziro gwe Ngabi,kubanga gwe gwabanga omuziro gwa Balangira abava e Bunyoro .Oluvanyuma lwentalo ezabanga mu kasolya k’omutaka Nsamba e Buwanda kubanga baali baluganda,nga bonna basibuka kibulala mu Singo era n’okwewala entalo eza Nnamulondo.
Okuva olwo, mutunzi ng’omulangira,asibuka e kibulala,yatandika okulembera olulyo[essiga] nga akulemberera wansi w’omutaka Nsamba e buwanda. Abaana n’abazzukulu okuva mu lulyo olukola essiga lino ,batandika okweddira engabi ekulemberwa omutaka Nsamba era bazzukulu ba Nsamba mu ssiga lya mutunzi.
Essiga lino lya byafaayo kubanga lye livaamu Nnamasole wa Buganda, Maasombira Nsookwa Evelyn kulabako, eyazaalira Obuganda ekkula,Ssekabaka Daudi Ccwa ii, ekyafuula ekika ky’engabi eky’enkizo okuva ku Mirembe egyo n’okutuusa kaakano.
ESSIGA LYA MUTUNZI E BWAMIJJA,KABIRA-BUDDU MU MITI EMIRANGAVVU
Essiga lino liyitibwa lya BALANZI mu kika ky’engabi olw’obulanzi obwakkiranga ku balangira abava mu ssiga lino.kino kiri mu nnono ya Bazzukulu ba Nsamba abava mu SAsiga erya MUTUNZI era bamanyikiddwa ng’abava mu MITI EMIRANGAVVU[ekifo ekizadde]e Bwamijja,Kabira Buddu,baffaffe Kagoro ne banne webatandikira.
Omutaka MUTUNZI,buli mwaka akunganya bazzukulube abalanzi bona mukumanyiga ate n’okumanyisa abazzukulu ku byafaayo by’essiga. Kino kikolebwa buli mwaka mu kawefube w’okutumbula ennono za Buganda. Kinajjukirwanga nti buli lukungaana, Jjajja Nsamba Omutaka ow’akasolya akkiriza najja okulambula bazzukulube abalanzi mu miti emirangavvu.
OBUKULEMBEZE
Essiga lino lirina obukulembeze mu nnono ne mu bukozi bw’emirimu egya bulijjo .Emirimo gy’ennono gikulemberwa omutakaow’essiga,wamu ne batabanibe abataka ab’emituba. Ate obukozi bw’emirimu bukulemberwa katikkiro wamu n’olukiiko olukozi lw’emirimo okutwaliza awamu. Emituba egikola essiga lya Mutunzi giri 18 nga gino mpagi nene nnyo mukutumbula emitendera gy’owansi ate ne waggulu.