Wannyana omwa Kabaka Wunyi yafumbamu akabanga, naye mu bbanga eryo n’omulangira Karemeera we yatuukira ewa kitawe omuto Kabaka we Bbunyoro. Yali asindikiddwa kitaawe, Kabaka w’eBuganda akole ekibonerezo ekyali kimuteekeddwako olw’obutajja ku kitaawe liiso buli weyaddanga. Ebyembi nga binajja omulangira bwe balabaganako ne Wannyana baagwa mu mukwano era okukakkana nga Wannyana afunye olubuto. Okutya eri bombi kwali kwa maanyi anti nga bwe bimanyika waaliwo n’okufiirwa obulamu bwabwe bombi.  Wannyana ensonga eno yagibuulirako mukwano gwe Mulegeya ate era ng’ono yali nfanfe wa Kabaka Wunyi era ngayamubumbira n’ensuwa awamu  n’ebibya. Okumanya nti Mulegeya yali mukwano nnyo gwa Kabaka; Kabaka yamweyabizaanga awatali kwekweka kwonna era nga bawabuligana mu bingi olw’omukwano n’okwesigaŋŋana kwe baalina. Mulegeya bweyabuulirwa ekyali kituusewo naye yeekanga wabula yasalirawo amagezi aganawonya ababiri bano obukambwe bwa Kabaka. Omulangira Kalemeera yye yamulagira agende asiibule Kabaka era amutegeeze nti addayo eBuganda. Kino yalina okukikola mubwangu ddala ebirala bimugwe nkoto. Omulangira naye bweyakola nagenda ewa Kabaka Wunyi namusiibula. Kunsonga yeemu yayiiya era nasala amagezi agokuwonya Wannyana obutaloza kubukambwe bwa Kabaka. Mulegeya yagenda ewa kabaka Wunyi namulimba nti yalina ensonga enkulu ate nga ya kyama gye yalina okumutegeeza mu bwangu. Yakkiriza okumusisinkana era wano kwe kumulimba nti omulubaale yali amuyise namulagira  amugambe (Kabaka) nti bwaliwulira nga mukaziwe omu alina olubuto naye nga ssi lwamulubiri lwe tamokolangako kabi konna mbu olwo Kabaka lwaliwona ebizibu ebyandimujjidde mubwakabaka bwe nti era bwalikola ekyo yali wakuwangaala nnyo. Yayongerako  n’okumutegeeza nti ‘era omukyala ono amujjanga mu lubiri nomuzimbira ebweru walwo. Nti ate omwana gw’alizaala tomuttanga wabula bamutwalanga nebamusuula mubirombe eyo gyalifiira. Ekyo bwekilikolebwa oliba owonye ebizibu ebyandijjidde obwakabakabwe. Byonna ebyamubuulilwa munywanyiwe yabikkiriza okubituukiriza bukolokolo era nasuubiza okubissa munkola ng’obudde butuuse.

Nga wayisewo akabanga, Kabaka yakitegeera nti Wannyana yeyalina olubuto era ekyaddirira kwekulagira  nafulumizibwa olubiri nga bweyali yategezebwa munywanyiwe Mulegeya. Kabaka era Wannyana yamuzimbira ennyumba ebweru w’olubiri nga Mulegeya bwe yamutegeeza era teyamukolako kabikonna. Wannyana ng’ava mu Lubiri nemutabani we Nsamba yagendanaye. Bwatyo Nsamba Lukonge bweyava mu Lubiri lwa Kabaka Wunyi.

Olubuto lwa Wannnyana bwelwazalibwa lwali lwa mwana wa bulenzi. Olwazaala omwana Kabaka nalagira abambowa nebamutwala mangu ago ne bamusuula mu kirombe awasimibwanga ebbumba eryabumbwangamu ensuwa nga Kabaka Wunyi bwe yalagirwa omulubale. Ekirombe omwana gye yatwalibwa kyali kimu kwebyo Mulegeya gyeyasimanga ebbumba mweyabumbanga ensuwa z’embuga. Mulegeya omwana yamukukusa namujjayo namukweka ewuwe munju.  Muka Mulegeya yalina omwana omuto gweyali ayonsa n’olwekyo okufuna owokumuyonsa tekyazibuwala. Anti bombi y’abayosezanga wamu bweyajjangako owuwe n’azaako owa Wannyana (Omulangira Kimera) oba okubayonsa mu mpalo okutuusa omwana lw’ebaakula. Omwana wa Mulegeya eyayonsebwanga mumpalo n’omulangira Kimera ye Katumba. Omulangira Kimera yalwawo nnyo okumanya nti maama wakatumba ssi yeyali amuzaala. Olwokuba abaana ba Wannyana Kimera ne Nsamba ba kulira ewamu n’abaana ba Mulegeya kyabaletera okuba ob’omukwano ennyo n’okukolera awamu.

Ebinnyonnyoddwa waggulu bikuleetera ekibuuzo kino,nti ddala nekumulembe guno tukyalina abantu abemmizi nga Mulegeya?

Nsamba Yozefu Kamoga II eyakaserera