Ngabi Clan

omutaka nsamba akubagiza namwandu w'akalondozi

NGA 12 Kasambula 2026 Katikkiro we Kika ky'e Ngabi KU lw'Omutaka Nsamba yakulemberamu aboolukiiko NE bagenda okukubagiza Namwandu WA Mulindwa Nkolo Joseph eyali Kalondoozi KU lukiiko lwe Kika. Nkolo yafa kibwatukira nga.....oluvannyuma lwokuziika nnyina eggulolimu nga..... Katikkiro yatwala ekita kyomwenge nga omusajja omuganda wamu n'e bintu ebikalu omwali Emigaati,Ssabbuuni, Sukaali, nebiralla. Mu kugenda yawerekerwako, Omumyuka we 2 Sseeguya Evalsto, owe byenjigiriza NE mizannyo Muwonge Lowlence BUDDO SS, Owaabakyala Nabiryo , Owoobulimi 'obwegassi Ssaalongo James Bukenya Viva, ko Nowaamawulire Muyomba peter MATOVU SSEBALIJJA. Namwandu yasanyuka nnyo olwekikolwa kino era neyeebaza nnyo Nsamba olw'okubalowoozaako. Wakati mukwewuunya ennyo , Namwandu yaggyayo era n'akwasa Katikkiro ensawo omwali empapula zonna ez'emirimu gy'ekika. Ensawo yalimu ensimbi zekika 1,344,000. Jjukira nti Kalondoozi era ye yali omuwanika omuto owekika.

Namwandu w'akalondozi