Ngabi Clan

Ebikwata ku kika

Ekika Ky’engabi

Ekika kye Ngabi kyekimu ku bika by’aBaganda ebimanyiddwa era kiri mw’ebyo ebisinga obugazi. Akulira ekika kino y’ Omutaka Nsamba ng’atuula ku mutala Buwanda mu Saza ly’eMawokota, Ggombolola ya Musaale Buwama ate omuluka gwa Mumyuka.

Mu masooka ab’eNgabi abamu tebaavanga mu NSAMBA wabula buli lulyo nga lwetwala lwokka. Ssekabaka Daudi Ccwa 11 eyazaalibwanga ab’eNgabi ye yalagira bakkojjaabe okwegatta awamu bafune obukulembeze abwawamu. Kino kyateekebwa mu nkola mu mwaka gwa 1927 endyo z’abeddira e Ngabi bwezaatuula ne bakkiriziganya Nsamba okuba omukulu w’ekika kyabwe. Okuva olwo okutuusa wano jjo ly’abalamu ku mulembe Omutebi Nsamba yabadde atwala abeddira eNgabi bonna mu Buganda era Nsamba Yileera Mukaaku Lubega ye Nsamba eyasooka okuba nsamba atwala abe’Ngabi bonna awamu mukitole. Okuva nga ……….. essiga lya Kannyana n’erya Mutawe gekutula ku Nsamba newatandikibwawo ekika ky’engabi eNnyunga era ne Ssabasajja nasiima ekika ekyo naakitongoza nga bwekyakolebwa ne mubika ebirala (abe Mmamba balimu Kakoboza ne ya Ggabunga , Omutima ogwa Kakeeto eBbale ate n’Omutima omusagi).

Engabi

Engabi nsolo ya mu ttale nga bweba ekuze bulungi yenkana ennyana. Erina amayembe nga ssi manene nnyo era nga ssimawavu nnyo nga kumutwe geesimbye bwesimbi

Olukiiko lwa Nsamba

Waliwo olukiiko olukozi lw’emirimo (Nsamba’s Executive) oluyamba ku mutakka okutukiriza obuwereza  nga lukulemberwa Katikkiro w’ekika era lweluno wamanga;

Abamu ku b'amasiga

Ab’engabi wetwogerera tulina amasiga amakumi asatu mwabiri (32), oluvannyuma lwokweyawula kwa Kannyana ne Mutaawe. Bano wamanga bebamu kubasiga mu bifananyi;

John Krezestom Matovu

Owesigga Mulindwa ebuyagga

Kaggwa M. Timothy Jjengo

Ow'essiga Ntayigi

Joachim Bitongole Bukenya

Owesiga Mateega engoma nene

Magandaazi A. Salongo

Owesigga Lubyaayi E Butale

Amawulire

Olwazi olusangibwa mu lukonge

Olwazi olusangibwa mu lukonge

Olwazi olusangibwa mu lukonge Olwazi luno luliko ebyafaayo bingi ddala mukika kye Ngabi. Kuno kiteberezebwa nti Jjajjaffe Lukonge kweyatukira era…

Amanya agatumibwa mu kika ky’eNgabi.

Amanya agatumibwa mu kika ky’eNgabi.

Amanya waliwo agabalenzi na’gabawala. Waliwo amanya agatatumibwa muntu mulala okujjako oyoyekka abaalirina i.e 1.Nsamba – eryo litumibwa mukuluwakika yekka. (Waliwo…

Ensibuko Ya Basambaganyi

Ensibuko Ya Basambaganyi

BUWANDA OBUTAKA ERA ENSIBUKO YA BASAMBAGANYI. Buwanda bwe butaka bwabazzukulu ba Nsamba abe Ngabi mu Buganda ne nsi yonna okutwalira…