Ngabi Clan

Ab’engabi abawandiisi abenjawulo bazze batuwandiikako mungeri zanjawulo nga balaga obuzaale bwa jjajjaffe Nsamba’Okugeza omuwandiisi M. B. Nsimbi bwe yawandiika mu kitabokye ekya  “Amannya amaganda ne nnono zaago”, ku lupapula okuli omuko 283. Wano yagamba nti ebikwata ku be’Ngabi tebyogerwa bumu. Newandibadde bawadiika bwe batyo, naye ffe tukimanyi nti maama wa jjajjaffe Nsamba Lukonge ye yali Wanyana ow’eNsenene nga ye muwala wa Mugalula e Kisozi nga kitaawe ye yali Lukonge.

Wannyana  ono kitegeezebwa nti yali muwala  mulungi lwondo, yasooka kuganzibwa jjajja ffe Lukonge era mu mbera eyo yamufunyisa n’olubuto  olwazaalibwa neluvaamu omwana owobulenzi nga bwetunalaba mu maaso eyo.  Lukonge Jjajjaffe kyeyatuukako/ekyamutuusibwako mu kumujjako Wannyana eyali kabiite we tekimanyiddwa. Naye bwe weefumiitiriza era n’ogezaako okwambala embeera eyaliwo bingi ebikujjira mu bwongo. Okugeza oyinza okugamba nti yagezaako okulwanirira mukyalawe naye kirowoozebwa nti kyandiba nti jjajja ffe kyadiba nti awo teyabuukawo kubannga ba Kabaka bebiseera ebyo baalina obuyinza bungi nnyo kkubulamu.

Nsamba yatuuka atya okuba nti bamwogerako ngeyava e Bunyolo

Mu mirembe egy’edda Kabaka w’eBunyolo Wunyi yajja okukyalila omutaka Mugalula e Kisozi nga bweyakolanga. Mugalula yamwetegekera bulungi era nayita ne banywanyiibe abawerako okujja okumwanirirzaako Kabaka we Bunyoro. Olw’obugenyi buno nemuwala we Wannyana eyali omwa Lukonge naye teyalutumira mwana. Ng’enjogera bweri nti ak’omunaku kekazikiriza omuliro, ne Jjajja waffe Lukonge mukaziwe Wannyana Kabaka Wunyi yamulaba nga mulungi kalaala kwekumusaba Mugalula agende naye abe mukyaalawe. Mugalula teyagaana anti Kabaka ono yali wa maanyi ddala era atiibwa. Wannyana mukutwalibwa Kabaka Wunyi kijukirwa nti yalimu olubuto lwa Jjajjaffe Lukonge.

Nsamba Lubega Lukonge y’ani?

Nsamba mubbeera wa Ssekabaka Kimera anti bombi Wannyana yabazaala nga Kimera ye yadda ku Nsamba. Ewa Kabaka Wunyi Nsamba yali mwana mujjanannyina. Ono mu lubiri nga kizibu nnyo okumanya nti teyali mwana wa Kabaka ye ate ng’oyinza otya okwetantala okuboola abaana bo mulubiri okujjako nga wali oyagala kwezaalira bitukula makaayi byazalira ku ttale. Wannyana mukutwalibwa e Bunyoro olubuto lweyagenda nalwo bwe yaluzaala omwana yali wa bulenzi era yamutuuma erinnya lya Lukonge ng’e rinnya lino lyeyamuwa lyeryali erya baawe  Kabaka Wunyi gwe yamujjako.

Ate erinnya erya Nsamba yalifuna atandise okutambula. Omwana Lukonge maama we Wanyana ya mwagala nnyo, nga bwekitera okubeera kubaana abaggulanda mu bakadde baabwe. Olw’omukwano ogwo yamwambazanga ebikomo n’okumusiba endege ku maguluge. Bwe yatambulanga nge endege n’ebikomo bivuga oba nga bikola amaloboozi amalungi ekyasanyusanga  ennyo omwana Lukonge nababalala abalinga waali abato nabakulu. Olw’essanyu eryo yayongeranga okusamba era neera ate mbu bwe yatandika okwogera ngabamubuuza kyakola nga ye abaddamu nti “Nsamba” era mukuddangamu kuno erinnya erya Nsamba weryatandikira olwo erya Nsamba nerimukalirako ddala na buli kati.

Erinya e lya Lubega yalifuna olw’enjogera egamba nti yali wa lubega lulungi olwaddibwako omulangira (Kimera) omwana w’omulangira Kalemeera (omutikkiza nkumbi) eyali asindikiddwa Kabaka we’ Buganda okukola ekibonerezo olwo musango gwe yali awayiriziddwa. Kino ssikipya anti abantu bafunnye amannya era negabakalirako ddala ate nabagafunnye nebageyagaliramu nnyo. Nekujjajjaffe Nsamba bwe gwali anti erinnya eryatandikirizibwa mubyokusaaga lyafuuka kkulu nnyo mukika kyaffe eky’eNgabi.  Ate erinnya erya Lubega yalifuna olwokuba bamwogerangako ng’owamabega amalugi okuddibwako omulangira. ( Lubega lulungi olwaddibwako omulangira). Omulangia ayogerwako wano ye Kimera. ( Mbu n’omulangira erilye lyava munjogera ya Banyoro eyagambanga nti “Kyamera kyonka” . Bwebabuuzanga Wannyana olubuto gyeyalugya ng’abaddamu nti lwajja lwokka. Olw’okuba yabaddangamu bwatyo bo kwekugambanga nti ekiri mulubuto lwa Wannyana kyamera kyonka. Omulangila bweyazalibwa kwekukazibwako erinnya erya Kimera. Olw’engeri Kabaka gyeyali yajja mukyalawe Wannyana mu Lubiri namuzimbira mu bakopi abamulabanga n’olubuto nga beebuuza olubuto gwe yalufunako.

Nsamba Yozefu Kamoga II eyakaserera