Ngabi Clan

Olwazi luno luliko ebyafaayo bingi ddala mukika kye Ngabi. Kuno kiteberezebwa nti Jjajjaffe Lukonge kweyatukira era kwekwateekebwa akatebe namummalako obanngabwe ntebe Lukonge kweyatuula nabulikati kwebiri.

Kuliko ne bigere byajjajja oyo weyatuula. Ate namaviivi gamukaziwe gasima weyagasimba nganebulikati obunnyabwago webulikati.Kulwazi kuno kuliko n’omweso Jjajjaffe kweyesezanga.

Okumanya olwazi luno lwabya nnono nnyo mu kika kyaffe waliwo b’emikolo egikolebwako mukutikkira Nsamba omujja.

Ente Kayinja agenda okulya obwa Nsamba agifumiti awo kulwazi era kwebaagirwa wabbali awo. Mu kufumita ente eno Kayinja omusika alinnya mukigere kya jjajja ffe olwo nasinziira okufumita. Kageza nafumita ebbanga olwongobusika bumulemye baba baleeta mulala.

Ow’okulya obwa Nsamba ngatannatwalibwa ku Kakiyambi kuyigga asooka kwesa mumweso oguliku Lwazi luno ng’akalombolombo/ogumu kumikolo gy’obwokulya obwa Nsamba. Ayesa nawassiga era wa no nawo waliwo akakunizo anti ekyeso omusika yalina okukigoba ate ng’atema kiteme

Emizizo ogiri ku lwazi luno:

  • Tekutambulizibwako ngatto
  • Tekwolezebwako ngoye yadde okusaako sabbuni.
  • Abakyala abali mumbeera yaabwe nabo tebalugendako
  • Alina obulimiro talulinnyako.
  • Amazzi gakwo tegakozesebwa mu byakuziika naye ng’okufumba gasobola okukozesebwa.
  • Tekutwalibwako kisena oba ekisenerwamu amazzi ekiriko enziro
  • Tekunaabirwako mubiri wadde ebigere.terulina kubaako bukyafu bwonna
  • Telukaabirwako
  • Terugabulirwako byakulya naye omwenge gunywerwako.
  • Omweso oguliko tegwesebwamu kitonde kikazi
  • Kuyiibwako omusaayi omulundi gumu gwokka kubuli Nsamba abaliko nga gwe musaayi gw’ente Kayinja efumitibwa abalidde obwa Nsamba. ( Okukiddamu Nsamba eyakolwako emikola ateekwa kuba ngamaze kuseerera).
  • Kulwazi luno tekukumwa kyoto kyona.
OLWAZI OLUSANGIBWA MULUKONGE