Ngabi Clan

Ekika Kyengabi

Akabbiro Jjerengesa

Ekika ky’engabi kikulemberwa ow’akasolya omutaka Nsamba era nga yatuuusa abazzukulu ewa Ssabasajja kabaka. Wansi wow’akasolya waliwo ab’amassiga bano nga baddirirwa ab’emituba. Kuno kuddako ennyiriri, empya n’enju. Buno obukulembeze bwa nsikirano.

Wabula era waliwo olukiiko olukozi (Nsamba’s Executive) nga lukulemberwa Katikkiro w’ekika.

Obukulembeze Bw’ekika Ky’engabi.

Obwa Nsamba bwa nsikirano era Nsamba bw’afa an’amusikira abikka akabugo. Enjole yabadde Nsamba eba etwalibwa okuterekebwa, ng’eno omusika akolwako emikolo gy’okumutuuza ku bwa Nsamba. Entebe y’obwa Nsamba tesulirawo nga njerere. Edda ng’omutaka Kasujja Lubinga yasumika Nsamba naye enkola eno yakyusibwamu nga Nsamba Antonio Kasozi asikira kitaawe Yireera Mukaaku olwo Ssabalangira Muyomba kwekutandika okusumika Nsamba. Ensonga yokusumika Nsamba yeyaleetera obwa Ssabalangira mu Ngabi okuba obwensikirano kubanga singa bwali bwakulonda bulonzi natalina kifundikwa yandibulidde ate nekibera kizibu okusumika nga talina kifundikwa.

Omutaka Nsamba
Olukiiko lwa Nsamba
Abamu ku b'amasiga
Owesigga Mulindwa ebuyagga John Krezestom Matovu
Owesigga Mulamaggo
Owesiga Mateega engoma nene
Owesigga Busajjabukirana
Owesigga Lubyaayi E Lutale