Ngabi Clan

ESSIGA LYA JJAAWO

XXXXXX

Jjajja Jjaawo

Essiga lya Jjaawo kati liweredala emyaka egisuka mu 109. Naye olwembera yensi lyateganyizibwa entalo ze misilamu. Entalo na ziwedde bajjajjaffe tebasobola kubera kubutaka basassana nokutuusa kati.

EMITUBA EGITAMBULA

  1. Omutuba ogwa Mukasa nga ono yemwana wa Jjaawo omubereberye, omukulu womutuba ye mwami Sylivest Kibuuka
  2. Omutuba gwa Muzaaya guno gwe gwensikilano yo bwa Jjaawo. Eno yensikirano, Jjaawo bweyaffa eyamusikira ye mutabani we Muzaaya ate Muzaaya nasikirwa Dingiro, Bachwa 1, Mukwanga, Kamoga, Balayira Lusamu, Nalugendo,Katera, NAMUTALE, Bachwa 2, Ssagala 1, Luwalira, Matayo Bulyake, Kiddawalime Herinico Muwanga, Muwonge Muzaaya, Matovu Robert Tadeo yaliwo nejifundikwa kyobwa Jjaawo.
  3. Omutuba gwa Bwoogi, omukulu agutwala ye omwami Pantaleo Kasozi
  4. Omutuba ogwa Gaawerera nogwa Makanaga kunnonya bazzukulu bagyo.

OLUKIKO OLUKULEMBEZE KU SSIGA

Table Header Table Header Table Header Table Header
Content
Content
Content
Content

Omutuba gwa tigabala gwe gumu ku mituba egikola essiga lya kirama rera nga guno gusangibwa Mitoma Ddwaniro kooki.Omutuba guno gwa maanyi ddala;kale bino wammanga bye byafaayo ebitonotono ebigukwatako;
Bazzukulu ba Tigabala ffenna tuva mu jjajja ffe Nkubuge,ono yazzala abaana abawerako kyokka be tujjukirako mwe muli,Musamya ne Banaalekaki.
Nkubuge,bwe yafa ,banaalekaki n’amusikira .Banaalekaki ku baana be yazaala tujjukirako;yokaana kato,kasinga Dan wamu ne Tigabala Nasanairi.
Banaalekaki bwe yafa ,Tegabala N.n’amusikira.Tegabala N.yazaala Lubega Livingstone,yokoyaada Bwogi,Namatovu Royroza ,Matovu Wookulira[Mutundalangi] ne mubyazaalwa.Matovu wookurila ne mubyazaalwa bo baali babeera ku mutala Byerima.wookulira ne Bboono Matovu.
Tegabala bwe yafa,yokoyaada bwogi n’amusikira naye obulamu bw’ensi eno obuwooma teyabuwangaalamu,yagenda e kaganga mu 1984.
Kinajjukirwa nti essiga lya kirama lyatongozebwa nga 2/9/2000,kale Matovu Eria Mukooki ye yalondebwa okukulembera omutuba gwa tigabala.Matovu Eria Mukooki yazaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala abawerako.matovu Eria mukooki bwe yagenda okulunda embogo ,Matovu moses n’amusikira era nga na kati y’aguli mu mitambo ate nga ye muwanika ku lukiiko lw’essiga lya kirama.
Matovu moses mukooki ye Tigabala era nga katikkiro we ye muwonge Grace naye asangibwa mu Ddwaniro kooki.