OMUTUBA GWA NFOOLA E KISAKALA MINZIRO

 

 

OW’EKITIIBWA HENRY MATOVU NDAWULA

OWEKITIIBWA HENRY MATOVU NDAWULA-01

Omutuba Guno, gwegumu ku Mituba 18 egikola Essiga lya Mutunzi, gusangibwa e Kisakala Minziro – Buddu. Gukulemberwa Oweekitiibwa Henry Matovu Ndawula, Omubaka wa Ssabasajja Kabaka mu Ssaza lya New England USA ng’awangalira mu Kibuga Boston, Katikkirowe y’Omulanzi Francis Xavier Lubinga, awangalira mu Kyotera – Buddu.

EBYAFAAYO BY’OMUTUBA

Nfoola yali omu ku baana ba Kagolo Jajjaffe. Kagoro yagabiranga batabani ebitundu nga bakuze. Bwaatyo Nfoola yasenguka okuva e Bwamijja nagenda asenga e Kyalusozi ekiri e Simba okulilaana ekibuga kye Kakuuto. Olwokuba yali muyizzi mukugu yatambula nga nnyo era bweyalengera ensozi ze Minziiro nazilumba nga ayitira mu lukoola oluli wakati we Kibira Malamagambo oluyitibwa Bitembe. Bweyatuuka e Minziiro embuga ye yagiteeka ku kyaalo Bukwanga. Awo nawo teyabandaalawo neyongerayo wagulu mu lusozi nasenga ku kyaalo Mugombe. Ekyaalo kino nakyo kiri mu nsozi ze Minziiro ku ludda lwe Tanzania anti abazungu bwebasala ensalo, Minziiro bagikutulamu ekitundu ekisinga obunenen nebakiwa Tanzania songa Minziiro yona okutuukira ddala ku muga Kagera bwaali bwa Bwakabaka bwa Buganda era Abalanzi gyebali bangi. Tukyalondoola enyiriri zaffe eyo nga twakakasayo biri.

Oluvanyuma mu kuyiganyizibwa okwaliwo ne ba Kabaka ba Buganda, kuba Kagoro yali mulangira, yadduka e Bwaamijja nagoberera mutabani we Nfoola e Minziro. Embuga ye yagikuba ku kyaalo Kampangi era okulilaana Mugombe ekyaali ekyaalo kya mutabani we Nfoola. Nga bwekaali akalomolombo ke, jajja Kagolo e Kampangi yasimbawo emitiegyakolanga ekibira kya Kagoro. Ekibira kino kisaanyiyizibwaawo jjo lya balamu nga naffe abawandiika bino twakilabako. Mwaalimu ne nsisira (esabo) eyakumibwanga jajjaffe Daudi Kikonge eyatibwa baserikale ba Amin lwebayingira okuwamba ekitundu kya Tanzania kino mu 1979. Mu nsisira muno mwalimu efumu lya Kagolo, engoma, endeku ne Bisingo. Jajjaffe Kigonge yalamirizanga mu lunyoro nga ali mu nsisiira eno era nga akakasa nti ebintu ebyalimu byaali bya jajjaffe Kagolo, yajja nabyo okuva e Kiulala era kirowozebwa ntino jajja Kagolo yagalamizibwa ku kyaalo kino. Jajjaffe Daudi Kikonge eyakumanga ebintu bino yazaala omwana omu Yakobo Kamujje ate omwanana oyo teyazaala era yewagula ku ba kitaffe abaali Baganda be a bekika mu kitundu. Kale bweyafa teyayabizibwa lumbe ebintu ebyo nebisigala nga tewali akuuma. Ate nga tanaffa omusika wa Kikonge oyo Yakobo yatunda ekibira kya Kagoro ne ttaka lyona. Abagula ekibira kati bakisaanyaawo ne nsisira (esabo) ya Kagolo neyokebwa. Kyoka kigambibwa nti muganda waffe omu effumu yaliwonya nalikweeka era nalyezibika. Tukyaali mu kawefube okufuna efumu elyo tulileete e Bwaamijja.

OBUKULEMBEZE BW'OMUTUBA:

Jajjafe Andrea Mutunzi III bweyakyaala e Minziiro mu 1960 yatongoza omutuba gwa Nfoola era obululembeze nabuwa Michael Kabiswa Kadogo kubanga Daudi Kikonge yali akaddiye nnyo. Daudi Kikonge ono yafiira ku myaka 112 ate nga yatibwa butibwa. Jajja Kadogo bweyafuna obusomesa obwe ddiini, obulukemebeze obw’enonno nasalawo okubuta era nabuwa Kaloori Mbaziira Matovu eyali omuwandiisi we kubudde obwo. Kalori Matovu yasikirwa Henry Matovu Mubende Ndawula era kati Nfoola aliwo era jajaffe Dawudi Mutunzi aliko yeyamusimbira omutuba. Lubuga we ye Mawulisiya Nabalanzi. Omutuba guno gulina akakiiko akafuzi akaliko Katikkiro, omuwandiisi, omuwanika, owabavubuka, owenkulakulana, era buli mukulu wa lunyiriri member ku kakiiko kano.Tuykyaali mu kawefube okuwandiisa abazukulu bonna ate n’okusaawo obukiiko buno mu buli