Ngabi Clan

ESSIGA LYA KIRAMA E GOMBE KAYONZA KOOKI RAKAI

XXXXXX

Jjajja KIRAMA

Obutaka bw’essiga lya kirama busangibwa ku mutala Gombe ekisangibwa mu muluka kayoza mu ggombola y’e Ddwaniro mu ssaza lya Ssaabasajja kooki,mu disitulikiti ye Rakai.
Essiga lino likulemberwa jjajja njuba Elizaphan nga ono ye yasikira kitaawe,omugenzi Tefiro Bwogi eyalialiklembera.

EMITUBA MU SSIGA KIRAMA

OMUTUBA OBUTAKA AGUKULEMBELA ENNAMBA Y’ESIMU
Kitenda
Kayonza,kooki
Matovu Samson B.
0704195101
Kabaagana
Kaabusa,kagamba,kooki
Hajji Abdul Bwogi
0772448366
Kasoloola
Kateerero,kooki
Matovu Moses
0700682622
Mabanja
Nnakabazzi
Ssebbowa Cyrus
0705055524
Nsaale
Kengobe,lwanda,kooki
C/O Matovu Ben Kagwa
0783670717
Lomolo mikando Nsumba
Kaliisizo,Buddu
Sseggona pascal
0756652214
Tegabala
Mitoma,Ddwaniro,Kooki
Matovu Moses
0752473499
Kaaja
Kitabaazi
Wasswa Kasinga
0755516764
Baziwe
Kiweeka Lwamaggwa,kooki kibbiina
Erukaana
0774645722
Luwukya
Kabaale,kooki
Muwonge Bumbakali
0755326749
Mwandaaza
Kaleere,kooki
Dr,Ssaalongo Matovu David Livingstone
0701854974
Balimunsi
Sseggona keresi
0787555737

OMUTUBA GWA TIGABALA {MITOMA DDWANIRO KOOKI}

Omutuba gwa tigabala gwe gumu ku mituba egikola essiga lya kirama rera nga guno gusangibwa Mitoma Ddwaniro kooki.Omutuba guno gwa maanyi ddala;kale bino wammanga bye byafaayo ebitonotono ebigukwatako;
Bazzukulu ba Tigabala ffenna tuva mu jjajja ffe Nkubuge,ono yazzala abaana abawerako kyokka be tujjukirako mwe muli,Musamya ne Banaalekaki.
Nkubuge,bwe yafa ,banaalekaki n’amusikira .Banaalekaki ku baana be yazaala tujjukirako;yokaana kato,kasinga Dan wamu ne Tigabala Nasanairi.
Banaalekaki bwe yafa ,Tegabala N.n’amusikira.Tegabala N.yazaala Lubega Livingstone,yokoyaada Bwogi,Namatovu Royroza ,Matovu Wookulira[Mutundalangi] ne mubyazaalwa.Matovu wookurila ne mubyazaalwa bo baali babeera ku mutala Byerima.wookulira ne Bboono Matovu.
Tegabala bwe yafa,yokoyaada bwogi n’amusikira naye obulamu bw’ensi eno obuwooma teyabuwangaalamu,yagenda e kaganga mu 1984.
Kinajjukirwa nti essiga lya kirama lyatongozebwa nga 2/9/2000,kale Matovu Eria Mukooki ye yalondebwa okukulembera omutuba gwa tigabala.Matovu Eria Mukooki yazaala abaana aboobulenzi n’aboobuwala abawerako.matovu Eria mukooki bwe yagenda okulunda embogo ,Matovu moses n’amusikira era nga na kati y’aguli mu mitambo ate nga ye muwanika ku lukiiko lw’essiga lya kirama.
Matovu moses mukooki ye Tigabala era nga katikkiro we ye muwonge Grace naye asangibwa mu Ddwaniro kooki.