Ngabi Clan

NSAMBA ADDA MU BUGANDA

Nsamba Lukonge ne Kimera Bakomawo e Buganda

Mubiseera ebyo mu Buganda waaliyo ekyokubeera anti Kabaka Chwa Nnabakka yali aseeredde naye nga teyalina mwana wa bulenzi ayinza kulya ŋŋoma ne by’embi n’omulangira Kalemeera yali afiiridde mu kkubo ng’adda e Buganda ng’ava e Bunyoro.

Naye abataka baalaba bibasobedde kwe kuddira Walusimbi eyali Katikkiro ne bamulagira afuge obuganda. Walusimbi bwe bamugyako bazaako ssebwaana.

Abataka  abaali ne Kalemeera baali bakyajjukira nti ekyabajja e Bunyoro nga tebesikidde nakawande yali nsonga ya Mulangira kufunyisa Wannyana muka Wunyi Lubuto. Kyebava banonyereza balabe oba ddala omwana Wannyana gweyazaala gyali ate oba yali wa bulenzi nga gyali teyattibwa. Balina essuubi nti bwaba omulenzi yandileetedwa alye eŋŋoma yabajjajja be.

Abataka bano bwe bamanya nti omwana yali gyali baatandika okukola olukwe olw’okumukima alye Obuganda. omukyala Nnakku  eyali kaddulubaale wa Chwa  Nabakka nabantu abalala  baatandikirawo okuluka olukwe lw’okunona omulangira Kimera e Bunyoro ajje atuule ku nnamulondo ya bajjajjaabe. Kino kyakolebwa mukyama okwewala okuteeka obulamu bw’omulangira mu buzibu. Abaanona omulangira  baasokera wa Kabaka Wunyi nebamubikira mugandawe ,Kabaka we Buganda nti yaffa. Baamusaba abawe omu ku batabanibe agende alye Obuganda.  Newaankubadde abatumwa baali bamanyi gwebanonye  naye ensonga bazitandika batyo olw’ebyokwekuuma.  Kigambibwa nti Kabaka teyayagala kuwaayo baana be bennyini kwe kubagamba batwale Nsamba mutabani wa Wannyana. Kino yakikola nti omwna bwatwaalibwa,ne nnyina Wanyana yali wakugenderako amuviire.  Abaatumwa okuva e Buganda, olwamanya nti omulangira gwe baagala y’omu ku baana ba Wannyana, Kabaka Wunyi bw’eyabakkiriza okutwala Nsamba tebaalonza lonza ne basitula okudda e Buganda. Mu bbanga lino Mulegeya yali yafa  nga mutabani we Katumba ye yali yamusikira. Abavubuka bano bonsatule baali bakulidde ddala nga balina n’abaana ate ng’omkwano ggwe balina gubasaza mu kabu . Mukuva e Bunyoro, abaava e Buganda;  Katumba yasaba Kabaka Wunyi amukkirize abawerekereko era yakkirizibwa. Newankubadde abaava e Buganda  Kabaka Wunyi yabawa Nsamba  ne gwebaba batwala okugenda okulya eŋŋoma kyokka bo baali bamanyi nti Kimera gwe baali batwala okulya eŋŋoma e Buganda. Bakikola bwebatyo olw’obutayagala Kabaka Wunyi kumanya nti omwana wa Wanyana, Kimera, gwe yazaala era nasuulibwa mu kiroombe afiireyo yali akyali mulamu. Kino okumanyibwa kyanditadde obulamu bwabwe bonna mu matigga. Olugendo luno olwabazza e Buganda, Katumba ye yakulembera. Kino yakikola bwatyo kubanga kitaawe Mulegeya yali yamulamira okulabilira n’okutwala Kimera nga mugandawe yennyini anti baali bayonsebwa ku mabeere gegamu aga muka Mulegeya. Bwe baamala okusomoka nga batuuse mu Buganda, ekyama ekyali kyasilikirwa ne kibikulwa nti Kimera ye yali ow’okulya obwakabaka naye ssi Nsamba Lukonge eyali abaweereddwa Kabaka Wunyi. Mumbeera eyo Nsamba Lukonge y’atandika okwogerwako nga ow’olubega olulungi olwaddibwako omulangira omulungi. Enjogera eno y’eyavaako erinya lya Lubega okulyongera ku lya Nsamba ne Lukonge.  Kuno kwekwaava n’omubala gw’engabi ogwasooka ogugamba nti kabuula kata Nsamba alye abulye.

Nsamba ava e Bunyoro gyeyakulira adda mu Buganda

Okudda e Buganda Nsamba ne Kimera omubbereewe era mutabani w’omulangira Kalemeera, maama waabwe Wannyana bajja naye.  Katumba ne bagandabe nabo teri yasigala anti bonsatule, Kimera, Katumba ne Nsamba baali bakulidde wamu ate nga bamukwano nnyo  nga nokuba  baakinnyumu ekitagambika. Olugendo lwabwe nga bava e Bunyoro terwari lubi wabula waliwo  ebintu webyali bibakalubiriddemu. Ensonga eno yeyatuusa n’okuwonga mutabani wa Nsamba omukulu, Wamala, eri balubaale olwo nebasobola okutambula obulungi. Okuwongebwa kuno kwekwavaako Wamala okuyitibwa Muwonge nga nabuli kati erinnya erya Muwonge  kkulu nnyo mu kika kyeNgabi. Muwonge  wassiga  nga n’obutaka bwe buli Jjalamba  mu Mawokota. Oluvannyuma batambula bulungi era ne batuuka bulungi n’okubaniriza nebabaniriza bulungi. Ensoonga ey’okunona omulangira okuva e Bunyoro yapangibwa abataka n’omukyala Nnaku eyali Kaddulubaale wa Chwa Nabaka. Kino kyaali bwekityo kubanga baali bagala okugya Ssebwaana omukopi ku bwakabaka. Ng’akomawo okuva e Bunyoro, Nsamba yajja n’abaana be. Ku baana abo Jjawo yye yasigala  Moya ng’ajjanjamba nnyina eyali omulwadde. Nsamba e Buganda yatuuka ne Wamala (Muwonge) ne Yiga. Kijjukirwa nti mu ngeri yonna Kabaka Wunyi teyamanyako nakatono nti omwana Wannyana gwe yazaala nasuulibwa mu kibumbiro teyafa.

‘Kimera ng’amaze okulya obwakabaka bwe Buganda yakwasa Katumba Nsamba omubbere we

amulabirire era amukuume nga bweyakuuma yye.

Omuziro Ngabi
image003
Akabbiro Jjerengesa