Ngabi Clan

OBUBAKA OKUVA MU WOOFIISI Y’OMWOGEZI W’EKIKA KYENGABI.

Abasambaganyi mwenna,mbalamusizzannyo. Mugyebale gyemukola kulw’okubeezaawo amaka gammwe,Obuganda ne Uganda. Wabula mbeebazaamu ak’ensusso,olw’okulafuubana okulaba nti tuyimirizaawo ekika kyaffe. Bannange mwebale nnyo mwebalire ddala. JjajjaNsamba abatumidde,gy’ali mu mbuga eBuwanda alamyabulinsonga ekwataku bazzukulu; ngatayawuddeemu ono oba oli, abakulisizzaayonnyo e Buwanda kulunaku lwa Buwanda Day. Abajja mwenna mwebale. Abatajja abalinamu essuubidde nennyonti omwaka ogujja mmwe munaabeera abasaale. Katikkiro wamu n’olukiiko lwonna olukulembeze,basanyufu nnyo olw’obumu bwemulaga mu kukola emirimu gy’ekika. Beebazannyo olukiikolw’amasiga agaali mu nsiike omulundi guno.Singa ffe nnatuna atambulira mu kkoweeryo, tewali kuwannaanya ekika kyengabi kijja kwongera okutinta. Buwanda ajjakuwuuma era ayakaayakane; anti agali awamu gegaluma ennyama .Wabula nno okuva e Buwanda,omwaka guno waliwo bingi ebyogeddwa; ebimungabiri mu kwebuuza, ebiralangabiri mu kukkaatiriza.Waliwo ebibadde eby’okunenya, so ate nga wabaddewo n’eby’okusiima. Naye era wabaddewon’eby’okwetumiikiriza.Kyandibadde kyabutali bwenkanya mu ngeri y’obukulembeze,singa ensonga ezo zonna naddala ezibadde kumukutu gwaffe ogwa bonna teziddiddwamu oba waakiri okuweebwako ebirowoozo. Omanyi buli awa ekirowoozo oba ekiteeso aba amanyi ye mutuufu. Naye nno n’abakulembeze aba alondwa jjajja Nsamba nabo bingi babirowoozaako. Ate sikyangu ffenna okubeera mu bukulembeze mu kiseera kye kikimu.
Bino bye njagadde okunokolayo ng abwe byayogerwaobaokubuuzibwa.

1- Olukiikolwajjajja Nsambalutambulakasoobo.
2- Abakulembezetebamanyiddwa era tebamanyibantu.
3- Abakulembezeabalondebwatebasobolamirimu.
4- TulekereawookulyassenteennyingikuBuwandaDay.
5- Ebibinjaby’amasigaamategesibikyusibwe
6- Okugenda e Buwandatukwosezengamuomwaka,
7- Abakulembezebawakanyaokuzimbaessomero

Namwandu w'akalondozi

omutaka nsamba akubagiza namwandu w'akalondozi

NGA 12 Kasambula 2026 Katikkiro we Kika ky'e Ngabi KU lw'Omutaka Nsamba yakulemberamu aboolukiiko NE bagenda okukubagiza Namwandu WA Mulindwa Nkolo Joseph eyali Kalondoozi KU lukiiko lwe Kika. Nkolo yafa kibwatukira nga.....oluvannyuma lwokuziika nnyina eggulolimu nga..... Katikkiro yatwala ekita kyomwenge nga omusajja omuganda wamu n'e bintu ebikalu omwali Emigaati,Ssabbuuni, Sukaali, nebiralla. Mu kugenda yawerekerwako, Omumyuka we 2 Sseeguya Evalsto, owe byenjigiriza NE mizannyo Muwonge Lowlence BUDDO SS, Owaabakyala Nabiryo , Owoobulimi 'obwegassi Ssaalongo James Bukenya Viva, ko Nowaamawulire Muyomba peter MATOVU SSEBALIJJA. Namwandu yasanyuka nnyo olwekikolwa kino era neyeebaza nnyo Nsamba olw'okubalowoozaako. Wakati mukwewuunya ennyo , Namwandu yaggyayo era n'akwasa Katikkiro ensawo omwali empapula zonna ez'emirimu gy'ekika. Ensawo yalimu ensimbi zekika 1,344,000. Jjukira nti Kalondoozi era ye yali omuwanika omuto owekika.