BUWANDA OBUTAKA ERA ENSIBUKO YA BASAMBAGANYI.
Buwanda bwe butaka bwabazzukulu ba Nsamba abe Ngabi mu Buganda ne nsi yonna okutwalira awamu. Ekyalo/obutaka buno busangibwa mu ssaza lya Ssabasajja Kabaka erye Mawokota, mu Ggombolola ya Musaale Buwama. Okutukayo ng’ova e Kampala okyamira ku kilometer 66.5 n’okwata kulidda e Katebo. Kulwekatebo otambulaku milo emu yokka n’olyoka okyama ng’okwata omukono ogwa kkono ng’ova kuludda lwe Buwama. Okutwalira awamu obutaka buno buli nga kilometer bbiri okuva e Buwama. Buwanda awerako obwagagabwa yiika …
Buwanda yetondese mu makkati gebyalo bino wammanga; Buwuga oluyi bwe buvanjuba, ate Buyiwa ali mumambuka ate Sango oludda lwebugwa njuba ne Kyato kuludda olwo ngalaga mu maserengeta. Oludda olusinngobugazi nekitundu kyebuvanjuba waliyo olutobazzi wabula bwolusomoka ogwa kukuzinga Buyiga.
Obutaka bwo Buwanda bukolebwa ebitundu bino:
- Awatudde olubiri lwo mutaka Nsamba wayitiwa Lukonge
- Kakira – nga mukitundu kino webaziika Ba Nsamba
- Buwanda – wano we wali ekiggwa kyabe Ngabi erawe wali akatawani
- Namutigumu – eno edda gye basulanga ba Nsamba abasoka nga bamaze okubajja oluwanga
- Nakatolo
- Ssolero – ekitundu kino kyaddangamu nnyo ebinyobwa kwekwava okukituma elinnya eryo
- Kitosi – eno walabika edda walingayo nnyo ettosi enti ne ttaka lyayo lirimu olubumbabumba.
- Ggenda balungi – kino kyekitundu omwali ekisaka mwe baziikanga baka Nsamba, kisangibwa kumpi ne Kitosi ekyemmanga newebayita mu faamu (Farm)
- Jjaya – kino ekitundu kiri wakati wa Farm ne Buwaali ne Bukasa
- Faamu – wano omugenzi Yolamu yeyazikawo nalimawo ebimera ka yiika nga 25 okumala ebbanga era bweyafa awo erinnya eryo kwekusigalawo.
- Bukasa – waliwo akatundu awaali amayinja we basamirira Lubaale Mukasa.
- Bubejja – wano wewali olubiri lwa Nsamba Magandaazi era omwaberanga omukyala we Kabejja.
- Munnayiga – wano we wali omuwafu oguyitibwa Nayiga ngagutwalibwa nge ekifo kyobuwangwa mu bengabi.
- Kasenene – ekitundukino kisimbidde ddala kulukomera Kakigambi ne Nnakuzisinga ne Buyiwa waliyo n’oluzzi omujjibwa amazzi gebeyambisa mu kwalula abaana ba Nsamba. Ate edda eno walingayo ettambiro lya Nsamba.
- Kkolombe –kino kisangibwa wakati wa Kasenene ne Kakiyambi.
- Kaakiyaambi – mukitundu kino wewasangibwa akasozi Buddo wa be Ngabi oba agenda okulya obwa Nsamba kwalinnyisibwa okumukakasa n’okumutikkira obwa Nsamba. Omukolo guno mukulunnyo mu kuteekako Nsamba.
- Nnaakuziringa: ekitundu kino kisangibwa kuludda lwe buvanjuba nga basulagana ne Kitusi, Kasenene, Kakiyambi ne Ggongoliro.
- Ggongoliro – kitundu kino kisangibwa wakati wa Bugabo, Jjayu ne Kyambizzi
- Bugabo – kinokyekitundu okuli olwazi ngovudde kuludda lwa Bubejja.
- Kyambizi – ekitundu kino kisimbye ku Nakizisinga, kitosi ne mmanga Kisimbye ku lusa ewa Waligo nenzizi bbiri era eno yewaali nemwanyi za Nsamba Kasozi
Oludda oluliko Buwaali – lwatwalibwanga Sabawali nga ye mwami wa Nsamba. Oludda oluliko Bugabo lwo lwakalemberwanga Sabagabo wa Nsamba
Ekyalo Buwanda kuliko amasomero abiri, St. Joseph neddala nga gombi gapulayimale. Kuliko ebijja ebinene bisatu, awazikibwa Bansamba e Kakira, ekyomumasaabli ne mu Buwanda. Mu Buwanda waliyo ne kijja kyabazaana awo mu muvule.
Obutaka bwab’eNgabi buwanvuwa era bugaziwa nebutwaliramu ne kyalo Busseebwa nga kino kiriko obwagagavu bwa yiika ezisukka mu bina. Eno waliyo ebitundu nga Busseebwa, Kajuuju, Kyannamuyomba, Wankulukuku, Kayanja, Buyuki, Kasenke, Buyondo, Namagongolo ne Kijjudde. Waliyo n’olusozi olugulumivu obulungi oluyitibwa Bussabwe. Buseebwe ali wakati wa Ssango, Kyato, Nabakkudde, Luwewe, Kawumba ne Nvule.