Amanya waliwo agabalenzi na’gabawala. Waliwo amanya agatatumibwa muntu mulala okujjako oyoyekka abaalirina i.e

1.Nsamba – eryo litumibwa mukuluwakika yekka. (Waliwo abazzukulu abakola ensobi okutuuma erinnya ly’omukulu w’ekika abaana babwe ekintu ekikyamu ennyo.Mukubirizibwa obutaddayo kutuuma linnya Nsamba nga toli mukulu wa kika kya Ngabi)

2 . Wannyana ne Ssewanyana – gatuumibwa baana oba erimu kugombi lituumibwa omwana asooka okuzaalibwa aba alidde obwa Nsamba.Wannyana lituumibwa muwala, Ssewannyana litumibwa mulenzi. Ab’eNgabi abalala tebalituuma. Kino kyajja bwekikyo Nsamba okutuuma amanya ago lwa kujjukira omuzadde omukazi Wannyana eyazaala Nsamba. Kino batutegeeza nti nebakkojja ba Nsama mubiseere ebyo bakikkiriza.

3. Abaana abobuwala okutuumibwa amannya agekisajja ngatweteesemu mbu okukoperera eby’ekizungu mbu zi “family names”. Tugwanidde okubyewala anti byongera kutufuula bagyira okwaboobwe awamu n’okubuza ennono zaffe.

Mu kika mulimu amanya agatuumibwa mu massiga gonna ate era nemubeeramu n’amaanya agatumibwa mu massiga agamu nagamu ate nga mu masiga amalala tebagatuuma.

 Amannya ag’engeri eno bwogawulila omanya mangu essiga alirina mwava. Tulina namannya agatuumibwa abantu abekikula ekimu kyokka ate amalala nga gagatta ebikula byombi. Okugeza Magandaazi lino lituumibwa balenzi omwa Ssabalangira Muyomba naye tewaliyo muwala alituumibwa. Abazzukulu abamu bawalaazizza empaka amannya agamu nebagafunira ne lyabawala okugeze edda erya Kamoga telyalinangayo lya kiwala naye ennakuzino owulirayo bebayita ba Nakamoga.

3. Amannya gabamasiga agasinga obungi gakoma kubamasiga bokka newankubadde agamu gatuumiddwa nnyo okugeza elya Muwonge, Mulindwa, Ssemaganda, Yiga namalala. Ate mu masiga agamu erinnya lyowomutuba lisigala nga lya wamutuba yekka newankubadde erya kitawe owessiga liba lituumibwa wonna.

Wetegereze

Nga temunnatuuma mwana wamwe linnya lyonna kiba kyamuwendo nnyo okusooka okumanya essiga mwemuva olyoke oyanguyirwe okulondera omwanawo erinnya ettuufu ng’osinzira ku nnono y’essiga n’omutuba mwova. Singa omwana aweebwa erinnya ngekyogeddwako waggulu kigobereddwa bulungi kyanguwa okugoberera obuzaare bwe ssinga wabaawo okubulankana mu mitendera gy’obuzaare. Kunsonga eno abakulu abamasiga bajja namwe mwandikoze kirungi ddala okufulumyayo enkalala zamannya agatuumibwa mu masiga. Kino kyakuyamba amannya agamu ate nga malungi obutelabirwa

AGAABALENZI

 

  • BALULETE
  • BBANDALI
  • BBOMBOKKA
  • BUKENYA
  • BUSOOMU
  • BYASIBA
  • GAAKI
  •  GAALIMAKA
  • JJENGO
  • KABIITO
  • KABUMBA
  • KAGUGUBE
  • KALANDA
  • KALUUMA
  • KAMOGA
  • KANAKULOOPA
  • KASANA
  • KASAANYA
  • KASEESA
  • KASIITA
  • KASOZI
  • KATABALWA
  • KATALO
  • KATASI
  • KATUGGA
  • KAYIGWA
  • KAYOGA
  • KYAMUFUMBA
  • KYOBENGA
  •  LUBADDE
  • LUBEGA
  •  LUBOGO
  •  LUBYAYI
  •  LUKONGE
  •  MAGANDAAZI
  • MATEEGA
  •  MATOVU
  •  MBAZZI
  • MIRIMU
  • MPUUGA
  • MUDUMYA
  • MUGUMYA
  • MUKUMBYA
  • MULIIKA
  • MULINDWA
  • MUWONGE
  • MUYOMBA
  • NGOBYA
  • NJUKI
  • NTANDA
  • SEGUYA
  • SSAGALA
  • SSAKA
  • SSEBUTTEMBA
  • SSEBYALA
  • SSEJJULU
  • SSEMAGANDA
  • SSEMUGAANYI
  • SSENKAAYI
  • SSERUGGA
  • SSERWANGA
  • WAGWA
  • WAMALA
  •  YIGA

AGAABAWALA

 

  • KAYITAMU
  • KINDI
  • KULABAKO
  • KYAMULABI
  • KYOKISA
  • LWENSISI
  • MASOMBILA
  • NABIRYO
  • NABITANDIKWA
  • NABUKEERA
  • NABUNJE
  • NAKACWA
  • NAKANWAGI
  • NAKIMBUTUGGU
  • NALUBEGA
  • NALWANGA
  • NAMAGANDA
  • NAMATOVU
  • NAMIRIMU
  • NAMUGUMYA
  • NAMULINDWA
  • NAMUNIINA
  • NAMUWONGE
  • NAMUYIGA
  • NAMUYOMBA
  • NANJALA
  • NANTANDA
  • NAYIGA
  • NDIBALEKERA
  • ZANKUMBI