Engabi nsolo ya mu ttale nga bweba ekuze bulungi yenkana ennyana. Erina amayembe nga ssi manene nnyo era nga ssimawavu nnyo nga kumutwe geesimbye bwesimbi. Engabi oluusi eba n’oluyina mubulago nga lweru. Engabi ewomerwa nnyo obuti obuyitibwa ejjerengesa obusangibwa ku mbubuto z’ebisaka n’ebibira oba. Engabi emanyiddwa nnyo nti tesavuwala era kuno ndowooza kwekwava nenjogere ya ‘kyebonere ng’amasavu geNgabi’ olwobutalabilabika. Abayizzi baginyumyako ngensolo eteri nyangu mu kuyigga.Kunsonga eno kwekwava nokugereesa nti ekitimba ekikadde tekukwata Ngabi, anti bw’ekigwamu ekiyuza nekiyitamu neyeyottera.
Kino kyogerwako mugeri zanjawulo ng’esooka kigambibwa nti abayizzi baayigga akasolo ne bakeegabanya bulungi awataali buzibu bwonna. Bwebamaliriza okugabana abamu kwekutandika okugamba nti akasolo kano ketwasse kagabika, anti buli omu yafuna. Bayongera okuyigga nokutta banne bakasolo kali akagabika. Olwokuddiŋananga olunye ebigambo kagabika awo erinya ngabi we lyatandikira nga lisalibwako munjogera eya KAGABI n’olvannyuma neyitibwa eNgabi.
AKABBIRO kab’eNgabi lye JJERENGESA
Ejjerengesa butiiti nga busangibwa ku mabbali gebibira, embirabira oba ku bisaka. Engabi ebuwoomerwa nnyo nga bwotedde (Laba ekifaananyi).
OMUBALA
Omubala lwe luyimba oluyimbibwa naye nga lugenda n’eŊŋoma ekubibwa n’eminyolo. Buli kika mubuganda kilina omubala gwakyo. Omuntu awulila buwulizi mubala guba gukubibwa notegeera ekika kyagwo. Ng’ojjeko mukufiirwa omubala gukubirwa ku mikolo gyonna egisigaddewo, munnyimbe, kumbaga, mukwangula mukwesanyusaamu okwengeri ezitali zimu.Buli musajja mukika kimukakatako okumanya okuba omubala gwekika mwava ate ssikibi nokimanya okukuba ogwobukojjabwo.
Abakazi bo tebakuba mibala.
Omubala nga gukubibwa eŋŋoma tetuuzibwa wansi wabula:
i). Agukuba awanirila eŋŋoma ngakozesa olwambalizo lwayabaza munsingo ye olwonakuba
ii). Omuntu omulala ayinza okugiwanilila
iii). Bwe wabawo omuti okumpi olwambalizo lwe ŋŋoma lwokozesa okugiwanilila ng’oli akuba.
Ate ggwe alina ekifundikwa kikuswaaza nnyo bw’oba tomanyi kukuba mubala gwa kika kyo. Weefubeko kati oguyige.
Omubala gwaffe abasambaganyi ogusinga okukozesebwa guvuga nti:
“KKALIKUTA KALIKUTANDA NEKAKUTWALA MUB’ENGABI ABASAMBAGANYI”
Omubala omulala guvuga nti “KAKKU KAKKUTADDE; TADDE KAKKU” guno gwa Nsamba yekka
Ennaku zino waliwo abakuba emibala ngabataddemu ebisoko mungeri zaabwe olw’okunyumisa naye ekiwandikiddwa wagguu omubala gwaffe mubusimbalala bweguvuga.
Omukubi w’omubala omuungi nebwatayogera kilala kyonna okujjako okwamira, eŊŋoma yennyini omukubi asobola okugyatuza ebigambo ebiri mumubala era abawuliliza nebamannya mubala gwakika kki oguba gukubibwa essawa eyo.