Katumba, Nsamba yasooka kumukumira Lubowa mu bitundu by’e Nakigalala (Nazigo) era wano weyazaalira n’omwana we…Bikwaya……. Ng’akyali wano yatemererwa eggambo eri Kabaka Kimera nti yali ategeka okumutabaala naye bino Nsamba bweyabiwurira nabibuulira Katumba era kwe kumugamba basenguke beyongereyo Kabaka bamubeere wala. Ekyali kivaako obuzibu, gwali mubala ogwaligugamba nti “Kabula kata Nsamba alye obwa Kabaka.” Bwebaava e Nnakigalala bakwata lidda ku nnyanja era bayitira Buzindeere, (ekitundu kino kiriranye nawali ekisaawe ky’ennyonyi ekipya ekye Ntebbe.) wano wewasangibwa obutaka bwa mutabani we Nfuufu obwasooka anti kati bwadda Kasozi Babenga mu Butambala. Wanno bamalirawo ddala ebbanga nazalirawo n’abaana abawera. Wano Katumba weyaweera mutabaniwe Jjumba ogw’okulabirira Nsamba ye watali. Okuva wano basaabala nebagenda mu biziinga bye Ssese. Bwebaatuuka e Ssese bamalayo ebbanga ate gyebaava nebasomoka baabo Ddimu ekiri kuludda oluliko Bukakata. Neeno ku lukalu babeerayo okumala ekiseera era gyebaava ne bawunguka okukakkana nga bagobye ku kizinga Bunjakko ekiri mu saza Mawokota. Nsamba eno gyeyeyitanga abaana be abamu basigalanga eyo okugeza Ssemaganda yasigala Ssese mu bizinga, Kalwanyi ye yasigala Ddimu ate abalala batambula ne nebasensera mu Buddu era nebafunamu n’obutaka bwabwe nabuli kati gyebuli.

Ku kizinga Bunjakko baaberako ddala ebbanga eriwera n’okukifundako ne batandika okukifundako. Amawulire g’ekizinga Bunjakko okufunda nga Jjumba ne Nsamba tebakyakigyako bwe gaatuka eri Kabaka Kimera kwekulagira Nsamba awungulwe atwalibwe ku lukalu ekyakolebwa. Ng’atuuse ku lukalu Jjumba yamuwerekerako namutuusa mu kiti kya Jjumba era wano webayawukanira Jjumba naddayo e Bunjakko ate ye Nsamba neyeyongerayo mu maaso. Nsamba bweyatuuka ku mutala Buwanda mu kifo ekiyitibwa Lukonge, nayagalawo nnyo era n’aseenga awo. Wano we yakuba embuga ye nabuli kati wewali embuga ya Nsamba enkulu. Mu kifo kino yasangawo olwazi olwafuuka olwebyafaayo mu kika kye’ Ngabi. Kiwanuzibwa nti Jjajja ffe oyo teyafa wabula yabulira kulwazi okwo ne mukaziwe.
Nga atuuse e Buwanda, y’asindiika mutabaniwe Wamala Muwonge nalya omutala eJjalamba era nakuba eyo embuga ye nabuli kati. Ate mutabani we Yiga yye n’aseenga e Ndiiraweru, nakuba embuga ye e Migamba nakyo ekiri mu Mawokota. Abaana ba Nsamba bano bombi tebayawukana ku kitaabwe mulugendo lwona okuviila ddala eBunyoro. Bamwawukanako ng’amaze kukkalira ku Buwanda.
Mu Buganda mu kusooka mwalimu endyo eziwerako nga nezaabeddira e Ngabi era nga bwe twalabye mu kusooka nti naye ku mulembe gwa Kabaka Daudi Chwa eyali azaalibwa omuzaana owe Ngabi eyayitibwanga Evarine Kulabako Nsokwa “Maasombira” yalagira ba kkojjabe bekumekume babe n’akasolya kamu. Kino kyajjawo oluvanyuma lwa Kabaka okubasaba begatte wamu era wansi w’obukulembeze bumu.
Mu 1927 endyo zonna ezabeddira e Ngabi zaatuula ne zikkaanya nti Nsamba yaba abeera omukulembeze wabwe erabo nebafuuka abakulu bamassiga nga geegatta kwago agava mu baana ba Nsamba. Mukiseera kino Nsamba eyaliko yali Yileera Mukaaku eyali yakasikira kitaawe Magandazi Yozefu. Okuva mubbanga eryo obukulembeze bwe Ngabi bwatambula bulungi era buli omu mu kika kino akimanyi bulungi nti obutaka buli Buwanda mu Mawokota. Kino kyakyukamu ku mulembe gwa Kabaka Mutebi bwe yasiima natongoza ekika ekirala nga kyeky’Abakyondwa ekulirwa omutaka Kannyana.
E byalo bya Nsamba Kabaka teyabisolozangamu musolo. Nsamba te ya siiganga baana ba bulenzi mu Lubiri lwa kabaka.Ate abawala mukusiigibwa ewa Kabaka basiigibwanga bayisibwa mu kika kya Nkima ng’omutaka Jjumba ye yabutuusanga ku Kabaka. “Amanya amaganda ne nnono zaago, ekya M.B. Nsimbi olup. 283”
Okwawukanako kwekyo Namasole Evirine Kulabako “Maasombira” okusiigibwa mu lubiri yayita mu kikka kya Ŋŋonge nga n’okutuka ku Kabaka Mwanga yayita ku Namasole Bagalayaze ow’eŊŋonge. Nsamba edda nga talaba ku Kabaka.
Obwa Nsamba bwa nsikirano era Nsamba bw’afa an’amusikira abikka akabugo. Enjole yabadde Nsamba eba etwalibwa okuziikibwa, ng’eno omusika akolwako emikolo gy’okumutuuza ku bwa Nsamba. Entebe y’obwaNsamba tesulirawo nga njerere. Edda ng’omutaka Kasujja Lubinga yasumika Nsamba naye enkola eno yakyusibwamu nga Nsamba Antonio Kasozi asikira kitaawe Yireera Mukaaku olwo Ssabalangira Muyomba kwekutandika okusumika Nsamba. Ensonga yokusumika Nsamba yeyaleetera obwa Ssabalangira mu Ngabi okuba obwensikirano kubanga singa bwali bwakulonda bulonzi natalina kifundikwa yandibulidde ate nekibera kizibu okusumika nga talina kifundikwa.
Obwa Nsamba bwa nsikirano era Nsamba bw’afa an’amusikira abikka akabugo. Enjole yabadde Nsamba eba etwalibwa okuterekebwa, ng’eno omusika akolwako emikolo gy’okumutuuza ku bwa Nsamba. Entebe y’obwa Nsamba tesulirawo nga njerere. Edda ng’omutaka Kasujju Lubinga yasumika Nsamba naye enkola eno yakyusibwamu nga Nsamba Antonio Kasozi asikira kitaawe Yireera Mukaaku olwo Ssabalangira Muyomba kwekutandika okusumika Nsamba. Ensonga yokusumika Nsamba yeyaleetera obwa Ssabalangira mu Ngabi okuba obwensikirano kubanga singa bwali bwakulonda bulonzi natalina kifundikwa yandibulidde ate nekibera kizibu okusumika nga talina kifundikwa.
Okuviira ddala ku Nsamba Lubega Lukonge ayogerwako nga Nsamba omuberyeberye, bano wammanga be bakalya Obwansamba mu nsikirano yaabwe.